1 Kings 7:47 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni ebintu byonna teyabipimisa, kubanga byali bingi nnyo nnyo; obuzito bw'ekikomo tebwamanyika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sulemaani teyapima bintu ebyo byonna, kubanga byali biyitiridde obungi; era tewali yapima buzito obw’ekikomo ebintu mwe byakolebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebintu ebyo byonna Sulemaani teyabipima buzito, kubanga byali bingi nnyo: obuzito bw'ekikomo tebwategeerekeka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebintu ebyo byonna Solomooni teyabipima buzito, kubanga byali bingi nnyo. N'olwekyo obuzito bw'ekikomo ekyakozesebwa tebwamanyika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sulemaani n'aleka ebintu byonna nga tabigeze, kubanga byali bingi nnyo nnyini: obuzito bw'ebikomo tebwategeerekeka.