1 Kings 7:48 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni yakola byonna eby'okukozesa mu Kiggwa ky'Omukama: Omwaliiro ogwa zaabu; emmeeza eya zaabu okw'okuteekebwa Emigaati egy'Okwolesebwa;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sulemaani n’akozesa n’ebintu ebirala byonna ebyateekebwa mu yeekaalu ya Mukama: ekyoto ekya zaabu; emmeeza eya zaabu okwaberanga emigaati egy’okulaga;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sulemaani n'akola mu zaabu ebintu byonna eby'okukozesebwa mu Yeekaalu: ekyoto n'emmeeza okuteekebwa emigaati egy'okulaga ya zaabu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Solomooni n'akola mu zaabu ebintu byonna eby'okukozesebwa mu Ssinzizo: alutaari n'emmeeza okuteekebwa emigaati egiweebwayo eri Katonda,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sulemaani n'akola ebintu byonna ebyali mu nnyumba ya Mukama: ekyoto ekya zaabu n'emmeeza okwabanga emigaati egy'okulaga, ya zaabu;