1 Kings 7:49 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ebikondo by'ettawaaza mu zaabu atatabuddwamu kirala: bitaano ku ddyo, bitaano ku kkono mu maaso g'Awatukuvu Ennyo; ebimuli, ettawaaza ne magalo ebya zaabu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ebikondo by’ettaala ebya zaabu ennongoose, bitaano ku luuyi olwa ddyo n’ebitaano ku luuyi olwa kkono, byonna awamu kkumi, mu kifo awaayimirirwanga okwogera; obusumbi bw’ebimuli; ettabaaza ne makansi nga bya zaabu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ebikondo by'ettaala ebiteekebwa mu maaso g'Ekifo ekitukuvu Ennyo, bitaano ku ludda olwa ddyo, n'ebitaano ku ludda olwa kkono, nga bya zaabu omulongoose; n'ebimuli, n'ettaala, ne makansi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ebikondo by'ettaala ebiteekebwa mu maaso g'Ekifo Ekitukuvu Ennyo, bitaano ku ludda olwa ddyo, n'ebitaano ku ludda olwa kkono, nga bya zaabu omulongoose; n'ebimuli, n'ettaala, ne makansi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ebikondo, ku luuyi olwa ddyo bitaano, ne ku lwa kkono bitaano, mu maaso g'awayimibwa okwogera, bya zaabu nnongoofu; n'ebimuli n'eby'ettabaaza ne makaasi, bya zaabu;