1 Kings 7:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emiryango gyali gya myango ena buli gumu, nga giri mu nnyiriri ssatu mu maaso, nga gitunuuliganye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli mulyango gwalina omwango nga gwa nsonda nnya, era nga gitunuuliraganye mu nnyiriri ssatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emiryango gyonna n'emyango gyazo gyali gya nsonda nnya ezenkanankana, n'amadirisa gaali mu nnyiriri ssatu, nga buli ddirisa ery'oludda olumu litunudde mu ddirisa ery'oludda olulala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emiryango gyonna n'emyango gyazo gyali gya njuyi nnya nnya ezenkanankana, n'amadirisa gaali mu nnyiriri ssatu, nga buli ddirisa ery'oludda olumu litunudde mu ddirisa ery'oludda olulala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era emizigo gyonna n'emifuubeeto nga gyenkanankana okutunuulirwamu: n'eddirisa lyayolekera ddirisa linnaalyo mu nnyiriri ssatu.