1 Kings 7:51 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulimu gwonna Solomoni gwe yali akola ku Kiggwa ky'Omukama bwe gwamalirizibwa, n'ayingiza ebintu bya kitaawe Dawudi: ffeeza, zaabu n'eby'okuwoomesa, n'abissa mu nkuluze y'Ekiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omulimu gwonna Kabaka Sulemaani gwe yakola ku yeekaalu ya Mukama bwe gwaggwa, n’aleeta ebintu Dawudi kitaawe bye yayawulirako Mukama, effeeza ne zaabu n’ebintu ebirala byonna, n’abiteeka mu mawanika ga yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe gutyo omulimu gwonna kabaka Sulemaani gwe yakola ku Yeekaalu ya Mukama ne guggwa. Sulemaani n'ayingiza ebintu Dawudi kitaawe bye yawonga, effeeza n'ezaabu n'ebintu byonna, n'abiteeka mu mawanika ga Yeekaalu ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe gutyo omulimu gwonna Kabaka Solomooni gwe yakola mu Ssinzizo ne guggwa. Solomooni n'ayingiza mu mawanika g'Essinzizo ebintu byonna Dawudi kitaawe bye yawongera Mukama: ffeeza, ne zaabu, n'ebikozesebwa byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe gutyo omulimu gwonna kabaka Sulemaani gwe yakola mu nnyumba ya Mukama ne guggwaawo. Sulemaani n'ayingiza ebintu Dawudi kitaawe bye yawonga, effeeza n'ezaabu n'ebintu, n'abiteeka mu mawanika g'ennyumba ya Mukama.