1 Kings 7:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yazimbirako Eddiiro ery'Empagi lya mikono amakumi ataano obuwanvu, ate obugazi emikono amakumi asatu. Mu maaso gaayo yakookerako ebbalaza endala, mu maaso gaayo n'asimbawo empagi eziwaniridde akasasi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’azimba ekisenge ekinene eky’empagi obuwanvu mita amakumi abiri mu ssatu n’obugazi mita kkumi na ssatu n’ekitundu. Mu maaso gaakyo waaliwo ekisasi, ekyali kiwaniriddwa empagi ez’emiti.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'azimba ekisenge ekinene ekiyitibwa ekyempagi: obuwanvu bwakyo bwali emikono ataano (50), n'obugazi bwakyo emikono asatu (30); nga kuliko ekisasi ekisereke ekiwaniriddwa empagi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'azimba ennyumba eyayitibwa Ennyumba Ey'empagi, nga ya mita amakumi abiri mu bbiri n'ekitundu obuwanvu, ne mita kkumi na ssatu n'ekitundu obugazi, ng'erina ekisasi ekisereke, ekiwaniriddwa empagi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akola ekisasi n’empagi: obuwanvu bwakyo bwali emikono amakumi ataano, n'obugazi bwakyo emikono amakumi asatu; ne mu maaso gaazo kisasi: ne mu maaso gaazo mpagi na miti minene.