1 Kings 7:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olubiri lwe olw'okusulamu lwali lwesuddeko mu luggya emabega ng'ovudde ku Ggombolola lwa nzimba ye emu. Solomoni era yakola n'ennyumba ya muwala wa Faraawo, Solomoni gwe yali awasizza, mu nkola ye emu ddala n'ey'Eggombolola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olubiri lwe yali agenda okubeeramu olwali emanju w’ekisenge ekinene lwali lukifaanana. N’azimbira ne muwala wa Falaawo, gwe yali awasizza, olulufaanana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennyumba Sulemaani mweyasulanga yali mmanju w'ennyumba esalirwamu emisango. Enzimba yaayo yali ye emu n'ey'Ennyumba y'Emisango. Sulemaani n'azimbira ne mukazi we, muwala wa kabaka w'e Misiri, ennyumba efaanana ng'eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennyumba Solomooni mwe yasulanga yali mu luggya lulala olwali emmanju w'Ekitawuluzi. Enzimba yaayo yali ye emu n'ey'Ennyumba y'Emisango. Solomooni n'azimbira ne mukazi we, muwala wa kabaka w'e Misiri, ennyumba efaanana ng'eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ennyumba ye gye yabeerangamu, oluggya olulala munda w'ekisasi, yali ya mulimu gumu na guli. Era n'akolera muwala wa Falaawo ennyumba, (Sulemaani gwe yali afumbiddwa,) okufaanana ng'ekisasi ekyo.