1 Kings 7:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Byonna ebizimbe bino, okuva ebweru okutuuka mu luggya olunene, okuva wansi okutuuka ku kasolya, byali bya mayinja ag'omuwendo, agabajjiddwa okutuukana n'ekigero ekyetaagibwa, ne gawoolebwa n'emisumeeni munda ne kungulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva ku musingi okutuuka waggulu, ebizimbe ebyo byonna n’oluggya olunene, byazimbibwa n’amayinja agaagerebwa ne gasalibwa n’emisumeeno, mu bigera byago.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennyumba ezo zonna, zazimbisibwa amayinja ag'omuwendo omungi, agaatemebwa mu kirombe ne gayoyotebwa bulungi, ku ngulu ne munda, agaazimbibwa okuva ku musingi okutuuka waggulu, era bwe gatyo n'ebweru okutuuka mu luggya olunene.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amayumba ago gonna ng'otwaliddemu n'oluggya olunene, gaazimbibwa na mayinja amalungi ddala, okuva mu musingi okutuukira ddala waggulu ebisenge gye bikoma. Gaasalwa n'emisumeeno mu kigero kyago kye baagapimira, ne gayooyootebwa ku ludda olwomunda n'olw'ebweru.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ezo zonna zaali za mayinja ga muwendo mungi, ga mayinja mabajje, nga bwe gagerebwa agasalibwa n'emisumeeno, munda n'ebweru, okuva ku musingi okutuuka ku mayinja aga waggulu, era bwe gatyo n'ebweru okutuuka ku luggya olukulu.