1 Kings 8:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bakabona nga tebakyasobola kuyimirira kuweereza olw'okubeera ekire, anti ekitiibwa ky'Omukama kyali kijjuzizza Ekiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bakabona n’okuyinza ne batayinza kuweereza olw’ekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyali kibunye mu yeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bakabona n'okuyinza ne batayinza kuyimirira okuweereza olw'ekire: kubanga ekitiibwa kya Mukama nga kijjuzizza Yeekaalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
bakabona ne batayinza kuyingiramu okuweereza olw'ekire, kubanga ekitiibwa kya Mukama kyajjuza Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bakabona n'okuyinza ne batayinza kuyimirira okuweereza olw'ekire: kubanga ekitiibwa kya Mukama nga kijjuzizza ennyumba ya Mukama.