1 Kings 8:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibiina kyonna ekya Yisirayeli bwe kyali kiyimiridde awo, Kabaka n'akyuka n'awa omukisa ekibiina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibiina kyonna ekya Isirayiri bwe kyali kiyimiridde awo, kabaka n’abakyukira n’abasabira omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'akyukira ekibiina kyonna eky'Abaisiraeri abaali bayimiridde n'akisabira omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo kabaka n'akyuka, n'atunuulira ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli ekyali kiyimiridde awo, n'akisabira omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'akyusa amaaso ge, n'asabira ekibiina kyonna ekya Isiraeri omukisa; ekibiina kyonna ekya Isiraeri ne kiyimirira.