1 Kings 8:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
‘Okuva lwe naggya abantu bange Yisirayeli mu Misiri, sirondanga kibuga mu bika byonna ebya Yisirayeli muzimbibwemu ekiggwa erinnya lyange libeerenga omwo, wabula nnonze Dawudi afugenga abantu bange Yisirayeli.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yayogera nti, ‘Okuva ku lunaku lwe naggyirako abantu bange Isirayiri mu Misiri, seerobozanga kibuga na kimu mu bika byonna ebya Isirayiri okuzimbamu yeekaalu, naye neeroboza Dawudi okufuga abantu bange Isirayiri.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuva ku lunaku lwe nnaggyirako abantu bange Isiraeri mu Misiri, seerobozanga kibuga kyonna mu bika byonna ebya Isiraeri okuzimba Yeekaalu, erinnya lyange libeerenga omwo; naye nneeroboza Dawudi okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
‘Kasookedde nzigya bantu bange Abayisirayeli mu Misiri, seerobozanga mu bika bya Yisirayeli byonna kibuga na kimu mwe bananzimbira Ssinzizo. Naye neeroboza Dawudi akulembere abantu bange Abayisirayeli.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okuva ku lunaku lwe nnaggirako abantu bange Isiraeri mu Misiri, seerobozanga kibuga kyonna mu bika byonna ebya Isiraeri okuzimba ennyumba, erinnya lyange libeerenga omwo; naye neeroboza Dawudi okuba omukulu w'abantu bange Isiraeri.