1 Kings 8:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka si ggwe onoozimba ekiggwa, wabula mutabani wo, asibuka mu ggwe; oyo yalizimbira erinnya lyange ekiggwa.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye si ggwe olinzimbira yeekaalu, mutabani wo alikuzaalirwa, ow’omusaayi gwo yennyini, y’alizimbira erinnya lyange eyeekaalu.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye sigwe ojja okugizimba; wabula mutabani wo aliva mu ntumbwe zo, ye alizimbira erinnya lyange Yeekaalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye si ggwe ojja okulizimba, wabula mutabani wo, ggwe wennyini gw'ozaala, ye alinzimbira Essinzizo.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era naye tolizimba nnyumba; naye mutabani wo aliva mu ntumbwe zo, oyo ye alizimba ennyumba olw'erinnya lyange.