1 Kings 8:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama akakasizza kye yayogera. Nasikira kitange Dawudi era kati ntudde ku nnamulondo ya Yisirayeli ng'Omukama bwe yayogera, nzimbidde n'erinnya ly'Omukama, Katonda wa Yisirayeli, ekiggwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ Mukama atuukirizza kye yasuubiza, ne nsikira Dawudi kitange, n’okutuula ne ntuula ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde erinnya lya Mukama Katonda wa Isirayiri eyeekaalu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mukama atuukiriza kye yayogera; kubanga nze nnyimukidde mu kifo kya Dawudi kitange, nga ntudde ku ntebe ya Isiraeri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde erinnya lya Mukama Katonda wa Isiraeri Yeekaalu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kaakano Mukama atuukirizza ekigambo kye, kye yayogera, kubanga nsikidde kitange Dawudi, ne ntuula ku ntebe y'obwakabaka bwa Yisirayeli, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbidde Mukama, Katonda wa Yisirayeli, Essinzizo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama anywezezza ekigambo kye kye yayogera; kubanga nze nnyimukidde mu kifo kya Dawudi kitange, nga ntudde ku ntebe ya Isiraeri, nga Mukama bwe yasuubiza, era nzimbye ennyumba olw'erinnya lya Mukama, Katonda wa Isiraeri.