1 Kings 8:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nfunye ekifo aw'okussa Ssanduuku omuli Endagaano y'Omukama gye yakola ne bajjajjaffe lwe yabaggya mu nsi y'e Misiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ntaddewo ekifo ky’essanduuko, omuli endagaano ya Mukama gye yakola ne bajjajjaffe, ng’abaggya mu nsi y’e Misiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ntadde mu ekifo eky'essanduuko, omuli endagaano ya Mukama, gye yalagaana ne bajjajjaffe, bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nditaddemu ekifo ky'Essanduuko erimu Endagaano, Mukama gye yakola ne bajjajjaffe, bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ngeze omwo ekifo eky'essanduuko; omuli endagaano ya Mukama, gye yalagaana ne bajjajjaffe, bwe yabaggya mu nsi y'e Misiri.