1 Kings 8:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, mu ggulu waggulu ne ku nsi wansi teri Katonda akufaanana, ggwe akuumira endagaano n'ekisa kyo abaweereza bo abatambula mu maaso go n'omutima gwabwe gwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ayogera nti, “Ayi Mukama Katonda wa Isirayiri, tewali Katonda akufaanana mu ggulu waggulu oba wansi ku nsi, gwe akuuma endagaano yo ey’okwagala n’okuuma n’abaddu bo abatambulira mu maaso go n’emitima gyabwe gyonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'ayogera nti Ayi Mukama, Katonda wa Isiraeri, tewali katonda afaanana ggwe, mu ggulu waggulu newakubadde wansi mu nsi; akuuma endagaano n'okusaasira eri abaddu bo, abatambulira mu maaso go n'omutima gwabwe gwonna:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'agamba nti: “Ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, mu ggulu ne mu nsi tewaliiyo Lubaale ali nga ggwe, akuuma endagaano gy'okola n'abantu bo, era abakwatirwa ekisa bwe bakunywererako n'omutima gwabwe gwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ayogera nti Ai Mukama, Katonda wa Isiraeri, tewali katonda akufaanana ggwe, mu ggulu waggulu newakubadde ku nsi wansi; akwata endagaano n'okusaasira eri abaddu bo, abatambulira mu maaso go n'omutima gwabwe gwonna: