1 Kings 8:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, ayi Mukama, Katonda wa Yisirayeli, kuumira omuweereza wo kitange Dawudi bye wamusuubiza bwe wagamba nti: ‘Tolibulwa musajja alituula ku nnamulondo ya Yisirayeli mu maaso gange, singa abaana bo baneegenderezanga mu makubo gaabwe ne batambuliranga mu maaso gange nga ggwe bw'okoze.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kaakano Mukama, Katonda wa Isirayiri, otuukirize bye wasuubiza omuddu wo Dawudi kitange, bwe wagamba nti, ‘Abaana bo bwe baneegenderezanga mu buli kye banaakolanga, ne batambuliranga mu maaso gange nga bw’okoze, wanaabangawo ow’omu lulyo lwo anaatuulanga ku ntebe ey’obwakabaka bwa Isirayiri mu maaso gange.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno, ayi Mukama, Katonda wa Isiraeri, kuuma ekyo kye wasuubiza eri omuddu wo Dawudi kitange ng'oyogera nti Mu zadde lyo tewaabulengawo musajja ow'okutuula ku ntebe ya Isiraeri; kasita abaana bo baneegenderezanga ekkubo lyabwe, ne batambulira mu maaso gange, nga ggwe bwe watambuliranga mu maaso gange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale kaakano Mukama, Katonda wa Yisirayeli, kuuma kye wasuubiza omuweereza wo kitange Dawudi, bwe wagamba nti: ‘Mu b'ezzadde lyo, toobulwengamu musajja gwe nteekawo okutuula ku ntebe y'obwakabaka bwa Yisirayeli, kasita ab'ezzadde lyo abo, banassangayo omwoyo okuyisa obulungi, ne bannywererako, nga ggwe bwe wakola.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno, ai Mukama, Katonda wa Isiraeri, kwata ekyo kye wasuubiza eri omuddu wo Dawudi kitange ng'oyogera nti Tewaakubulenga musajja mu maaso gange ow'okutuula ku ntebe ya Isiraeri; kyokka abaana bo bwe baneegenderezanga ekkubo lyabwe okutambuliranga mu maaso gange, nga ggwe bwe watambuliranga mu maaso gange.