1 Kings 8:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka tunuulira essaala y'omuweereza wo n'okuwanjaga kwe, ayi Mukama Katonda wange. Wulira omulanga n'essaala omuweereza wo by'aweerezza nga yeegayirira mu maaso go olwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano osseeyo omwoyo eri okusaba kw’omuddu wo n’okwegayirira kwe, Ayi Mukama Katonda wange. Owulire okukaaba n’okusaba omuddu wo kw’asaba mu maaso go leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ssaayo omwoyo gwo eri okusaba kw'omuddu wo, n'eri okwegayirira kwe, ayi Mukama Katonda wange, owulire okukaaba n'okusaba omuddu wo kw'asabira mu maaso go leero;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula, Katonda wange, ssaayo omwoyo ku kye nkusaba era wulira okwegayirira n'okukaaba kwange nze omuweereza wo, ompe kye nkusaba olwaleero.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ssaayo omwoyo gwo eri okusaba kw'omuddu wo, n'eri okwegayirira kwe, ai Mukama Katonda wange, okuwulira okukaaba n'okusaba omuddu wo kw'asabira mu maaso go leero;