1 Kings 8:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amaaso go gabeere ku Kiggwa kino ekiro n'emisana, ekifo kye wayogerako nti: ‘Erinnya lyange liribeeranga omwo,’ owulire essaala y'omuweereza wo gy'asabira mu kifo kino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amaaso go gatunuulirenga yeekaalu eno emisana n’ekiro, ekifo kino kye wayogerako nti, ‘Erinnya lyange linaabeeranga omwo,’ okuwulira okusaba kw’omuddu wo kw’asabira ekifo kino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
amaaso go togagya ku Yeekaalu eno emisana n'ekiro, eri ekifo kye wayogerako nti Erinnya lyange linaabeeranga omwo: owulirenga byenakusabanga nze omuddu wo ng'atunuulidde Yeekaalu eno.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amaaso go togaggya ku Ssinzizo lino emisana n'ekiro, ekifo kye wayogerako nti: ‘Omwo mwe banansinzizanga.’ Owulirenga bye nnaakusabanga nze omuweereza wo, nga ntunuulidde Essinzizo lino.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
amaaso go gazibukenga eri ennyumba eno emisana n'ekiro, eri ekifo kye wayogerako nti Erinnya lyange linaabeeranga omwo: okuwulira okusaba omuddu wo kw'anaasabanga ng'atunuulira ekifo kino.