1 Kings 8:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Wulira okuwanjaga kw'omuweereza wo n'abantu bo Yisirayeli bwe beegayirira mu kifo kino. Wulira, ng'oyima mu ggulu, ekifo mw'osula, ng'owulidde, saasira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Owulire okwegayirira kw’omuddu wo, n’okw’abantu bo Isirayiri, bwe banasabanga nga batunuulidde ekifo kino. Owulire okuva mu ggulu, ekifo gy’obeera, era bw’otuwulira, tukwegayiridde otusonyiwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era owulirenga bye nkusaba nze omuddu wo, era n'abantu bo Isiraeri, bye banaakusabanga nga batunuulidde ekifo kino: weewaawo, otuwulire ng'osinzira mu ggulu eyo gy'obeera, era bw'owulira, osonyiwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era owulirenga bye nkusaba nze omuweereza wo, era n'abantu bo Abayisirayeli bye banaakusabanga nga batunuulidde ekifo kino. Ddala otuwulire ng'osinziira mu ggulu eyo gy'obeera, era bw'owulira, osonyiwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era wulira ggwe okwegayirira kw'omuddu wo, n'abantu bo Isiraeri, bwe banaasabanga nga batunuulira ekifo kino: weewaawo, wulira ggwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeerangamu; era bw'owulira sonyiwa.