1 Kings 8:31 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omuntu bw'alisobya eri munne, n'aba ng'alina okulayira, n'ajja n'alayira mu maaso g'omwaliiro gwo mu Kiggwa kino,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Omuntu bw’anaasobyanga muliraanwa we, ne kimugwanira okulayira, n’ajja n’alayirira mu maaso g’ekyoto mu yeekaalu eno,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu bw'anaasobyanga ku munne, ne bamuleeta okumulayiza, n'ajja n'alayirira mu maaso g'ekyoto mu Yeekaalu eno;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omuntu bwe banaamulumirizanga nti yazza omusango ku munne, ne baagala okumulayiza okukakasa oba nga talina musango, omuntu oyo n'ajja n'alayirira wano mu maaso ga alutaari yo mu Ssinzizo lino,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu bw'anaayonoonanga munne, ne bamussaako ekirayiro okumulayiza, n'ajja n'alayirira mu maaso g'ekyoto kyo mu nnyumba eno;