1 Kings 8:32 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'oyima mu ggulu owuliranga, n'obaako ky'okola. Olamulanga wakati w'abaweereza bo n'osingisa omubi omusango, n'ossa ekisobyo kye ku mutwe gwe; omutuukirivu n'omwejjeereza, n'aweerwa okusinziira ku butuukirivu bwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
owulire okuva mu ggulu, era omukole nga bw’olaba. Osale omusango wakati wa baddu bo, era obonereze oyo omusango gwe gusinze nga bwe kimusaanidde. Olangirire nti atasobezza taliiko musango, ekyo kinaakakasa nti taliiko musango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale owuliranga ng'oyima mu ggulu, n'olamula abaweereza bo, n'obonereza omusobya, ne wejjeereza atalina musango.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mu ggulu eyo gy'oli, owuliranga n'olamula abaweereza bo, n'obonereza omusobya, ne wejjeereza atalina musango.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale owuliranga ng'oyima mu ggulu, okole osalire abaddu bo omusango, okusinga ababi okuleeta ekkubo lye ku mutwe gwe ye; era ng'owa abatuukirivu obutuukirivu, okumuwa ng'obutuukirivu bwe bwe buli.