1 Kings 8:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abantu bo Yisirayeli bwe bagobebwanga abalabe baabwe kubanga baakola ekibi gy'oli, bamala badda gy'oli, ne beetondera erinnya lyo, ne basaba n'okukuwanjagira mu Kiggwa kino,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abantu bo Isirayiri bwe banaawaangulibwanga omulabe olw’ebibi byabwe, ne bakyuka ne badda gy’oli, ne baatula erinnya lyo, ne basaba ne bakwegayirira mu yeekaalu muno,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bo Abaisiraeri bwe banaawangulwanga abalabe baabwe olw'okuba nga baakwonoonye; bwe banaakukyukiranga nate ne beenenya ne baatula erinnya lyo ne basaba ne bakwegayirira mu nnyumba eno:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abantu bo Abayisirayeli bwe banaawangulwanga abalabe baabwe olw'okukunyiiza, naye ne badda gy'oli ne bakwenenyeza, ne basaba nga beegayirira mu maaso go mu Ssinzizo lino,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bo Isiraeri bwe banaakubibwanga ne bagwa wansi mu maaso g'abalabe, kubanga bakwonoonye; bwe banaakukyukiranga nate ne baatula erinnya lyo ne basaba ne bakwegayirira mu nnyumba eno: