1 Kings 8:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'oyima mu ggulu owuliranga, n'osonyiwa ekibi ky'abantu bo Yisirayeli, n'obazzaayo mu nsi gye wawa bajjajjaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale owulirenga ng’oli mu ggulu, era osonyiwenga abantu bo Isirayiri olw’ebibi byabwe, era obakomyengawo mu nsi gye wawa bajjajjaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, n'osonyiwa ekibi ky'abantu bo Isiraeri, n'obakomyawo mu nsi gye wawa bajjajjaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
eyo gy'oli mu ggulu owuliranga, n'osonyiwa ebibi by'abantu bo Abayisirayeli, n'obakomyawo mu nsi gye wabawa bo ne bajjajjaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu, osonyiwe ekibi ky'abantu bo Isiraeri, obakomyewo mu nsi gye wawa bajjajjaabwe.