1 Kings 8:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Eggulu bwe liggalibwanga, enkuba n'etetonnya kubanga abantu bo basobezza gy'oli, abantu bamala basabira mu kifo kino ne beetondera erinnya lyo, ne bava ku bibi byabwe olw'obuyinike bw'obataddemu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Eggulu bwe linaggalwangawo ne wataba nkuba, olw’ebibi byabwe, era bwe banasabanga nga batunuulira ekifo kino ne baatula erinnya lyo ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, olw’okubabonereza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eggulu bwe linaggalwangawo, enkuba netetonya, kubanga abantu bo baakwonoonye; naye bwe banaasabanga nga batunuulidde ekifo kino ne baatula erinnya lyo ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, nga omaze okubabonereza;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Eggulu bwe lineesibanga enkuba n'etetonnya kubanga abantu bakoze ebibi ne bakunyiiza, naye oluvannyuma ne bakwegayirira nga batunuulidde ekifo kino, ne bakwenenyeza, ne balekayo ebibi byabwe ng'omaze okubabonereza,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eggulu bwe linaggalwangawo, so nga tewali nkuba, kubanga bakwonoonye; bwe banaasabanga nga batunuulira ekifo kino ne baatula erinnya lyo ne bakyuka okuleka ekibi kyabwe, bw'obabonyaabonyanga;