1 Kings 8:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'oyima mu ggulu owuliranga, n'osonyiwa ebibi by'abaweereza bo n'eby'abantu bo Yisirayeli. Oboolekanga ekkubo eddungi mwe baba batambulira; otonnyesanga enkuba ku nsi yo gye wawa abantu bo ebeere obusika bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale owulirenga ng’oli mu ggulu, era obasonyiwenga ekibi ky’abaddu bo, abantu bo Isirayiri. Obayigirize ekkubo etuufu ery’okutambulirangamu, era otonnyese enkuba ku nsi gye wawa abantu bo ng’omugabo gwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu n'osonyiwa ekibi ky'abantu bo Isiraeri, n'obayigiriza ekkubo eddungi lye baba batambuliramu; n'otonyesa enkuba ku nsi yo gye wawa abantu bo okuba obusika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
eyo gy'oli mu ggulu owuliranga n'osonyiwa ebibi by'abaweereza bo, era abantu bo Abayisirayeli, n'obayigirizanga okukola ebituufu. Olwo n'otonnyesa enkuba ku nsi yo eno, gye wawa abantu bo okuba eyaabwe emirembe gyonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu osonyiwe ekibi ky'abaddu bo n'abantu bo Isiraeri, bw'obayigiriza ekkubo eddungi lye baba batambuliramu; oweereze enkuba ku nsi yo gye wawa abantu bo okuba obusika.