1 Kings 8:37 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Enjala bw'egwanga mu nsi, oba kawumpuli, oba nnabbambula, oba ebimera okugengewala, oba enzige oba amayanzi, oba omulabe waabwe n'abazingiza mu kimu ku bibuga byabwe, oba ekibonoobono ekya buli ngeri, oba ekirwadde kyonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe wanaabangawo enjala mu nsi, oba kawumpuli, oba okugengewala oba bukuku, oba enzige, oba omulabe ng’abazingizza mu bibuga byabwe, endwadde yonna ne bweneefaanananga etya,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe wanaagwanga enjala mu nsi, oba bwe wanaabangawo kawumpuli, oba okugengewala, oba obukuku, oba nzige, oba akawuka; oba abalabe baabwe bwe banaabazingirizanga mu bibuga byabwe; kawumpuli oba endwadde endala yonna ne bw'ebinaabanga bitya;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu nsi bwe munaagwangamu enjala, oba bwe munaabangamu endwadde ya kawumpuli, oba ebirime bwe binaagengewalanga, oba ne bikukula, oba ne byonoonebwa enzige oba ebisaanyi; oba abalabe bwe banaalumbanga abantu bo mu bibuga byabwe, oba bwe wanaabangawo endwadde yonna, oba okulumizibwa okwa buli ngeri,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe wanaabanga mu nsi enjala, bwe wanaabanga kawumpuli, bwe wanaabanga okugengewala oba bukuku, enzige oba kawuka; abalabe baabwe bwe banaabazingizanga mu nsi ey'ebibuga byabwe; kawumpuli ne bw'anaafaanananga atya, n'endwadde ne bw'eneefaanananga etya;