1 Kings 8:38 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne wabaawo essaala yonna oba okuwanjaga kwonna okuva mu omu ku bantu bo Yisirayeli, nga buli muntu ategedde obuyinike bw'omutima gwe, n'agololera emikono gye eri Ekiggwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
omuntu yenna ku bantu bo bw’anaasabiranga ekintu kyonna, buli omu n’amanya endwadde ey’omu mutima gwe, era n’ayanjuluza emikono gye eri yeekaalu eno, kale owulirenga ng’oli mu ggulu, ekifo gy’obeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abantu bo Abaisiraeri ne bakusaba era ne bakwegayirira buli omu ku lulwe, oba bonna awamu nga bakugololera emikono, gye boolekeza Essinzizo lino okusinziira ku bulumi ne ku buyinike bwe bawulira:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abantu bo Abayisirayeli ne bakusaba era ne bakwegayirira buli omu ku lulwe, oba bonna awamu nga bakugololera emikono, gye boolekeza Essinzizo lino okusinziira ku bulumi ne ku buyinike bwe bawulira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kyonna kyonna omuntu yenna ky'anaasabanga era kyonna ky'aneegayiriranga, oba abantu bo bonna Isiraeri, abalimanya buli muntu endwadde ey'omu mutima gwe ye, n'ayanjuluza emikono gye eri ennyumba eno: