1 Kings 8:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
owuliranga ng'oyima mu ggulu, ekifo mw'osula. Osonyiwanga era n'obaako ky'okola; buli omu n'omuyisa nga bw'asaanidde, kubanga ggwe omanyi buli mutima - anti ggwe wekka ggwe omanyi emitima gy'abantu -
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Osonyiwenga era okolenga buli muntu ng’ebikolwa bye bwe biri, kubanga ggwe wekka ggwe omanyi, emitima gy’abantu bonna,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu mu kifo ky'obeeramu, n'osonyiwa n'osasula buli muntu ng'amakubo ge gonna bwe gali, kubanga ggwe, ggwe wekka, ggwe omanyi emitima gy'abaana b'abantu bonna:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
eyo mu ggulu gy'obeera, obawuliranga era obasonyiwanga. Buli omu omukoleranga ku bibye nga bw'asaanira, kubanga ggwe wekka, ggwe omanyi emitima gy'abantu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeerangamu osonyiwe okole osasule buli muntu ng'amakubo ge gonna bwe gali, gw'omanyiiko omutima gwe; (kubanga ggwe, ggwe wekka, ggwe omanyi emitima gy'abaana b'abantu bonna:)