1 Kings 8:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bambusa Ssanduuku y'Omukama ne Weema ey'Ensisinkano, na byonna ebitukuvu eby'okukozesa ebyabeeranga mu Weema; byonna bakabona n'Abaleevi ne babyambusa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bagireeta, ne baleeterako n’Eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ebintu byonna ebitukuvu ebyalimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne balinnyisa essanduuko ya Mukama, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ebintu byonna ebitukuvu ebyagirimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bagitwala mu Ssinzizo. Bakabona n'Abaleevi, Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama nayo ne bagitwala mu Ssinzizo, awamu n'ebintu byonna ebitukuvu ebyagirimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne balinnyisa essanduuko ya Mukama, n'eweema ey'okusisinkanirangamu, n'ebintu byonna ebitukuvu ebyali mu Weema; ebyo bakabona n'Abaleevi bye baalinnyisa.