1 Kings 8:42 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
- anti abantu bagenda kuwulira ku linnya lyo ekkulu, n'omukono gwo ogw'amaanyi, n'omukono gwo omugolole - awo nno bw'abanga azze n'asabira mu Kiggwa kino,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga abantu baliwulira erinnya lyo ekkulu n’omukono gwo ogw’amaanyi, bw’anajjanga n’asaba ng’atunuulidde yeekaalu eno;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga baliwulira obukulu bwo n'obuyinza bwo n'engeri gy'okolamu eby'amaanyi, n'ajja n'akusinza ng'atunuulidde Yeekaalu eno;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga baliwulira obukulu bwo n'obuyinza bwo n'engeri gy'okolamu eby'amaanyi, n'ajja n'akusinza ng'atunuulidde Essinzizo lino,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(kubanga baliwulira eby'erinnya lyo ekkulu n'engalo zo ez'amaanyi n'omukono gwo ogwagololwa;) bw'anajjanga n'asaba ng'atunuulira ennyumba eno;