1 Kings 8:43 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
owuliranga ng'oyima mu ggulu, ekifo mw'osula, n'okola kyonna omugwira ky'akusaba, abantu bonna mu nsi balyoke bamanye erinnya lyo, bakutye ng'abantu bo Yisirayeli bwe bakola, bakakase nti ennyumba eno gye nzimbye eyitibwa linnya lyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
owulirenga ng’oli mu ggulu, ekifo gy’obeera, era okolenga buli kintu kyonna omunaggwanga oyo ky’anaakusabanga, abantu bonna ab’omu nsi bamanye erinnya lyo era bakutyenga, ng’abantu bo Isirayiri bwe bakola, era bamanyenga nti Ennyumba eno gye nzimbye, etuumiddwa erinnya lyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu mu kifo kyo ky'obeeramu, n'omukolera nga bwakusabye; amawanga gonna ag'oku nsi balyoke bamanye erinnya lyo, baakuseemu ekitiibwa ng'abantu bo Isiraeri bwe bakola, era bamanye nti Yeekaalu eno gye nzimbye kye kifo eky'okukusinzizangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
eyo mu ggulu gy'obeera, owuliranga by'akusaba okumukolera, olwo abantu bonna mu nsi balyoke bakumanye era bakuwulire ng'abantu bo Abayisirayeli bwe bakuwulira, era bamanye nti Essinzizo lino lye nzimbye kye kifo eky'okukusinzizangamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
owuliranga ggwe ng'oyima mu ggulu ekifo ky'obeerangamu okole nga byonna bwe biri omunnaggwanga by'akukaabira; amawanga gonna ag'oku nsi balyoke bamanye erinnya lyo, okukutya ng'abantu bo Isiraeri bwe bakutya, era bamanye ng'ennyumba eno gye nzimbye etuumiddwa erinnya lyo.