1 Kings 8:44 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abantu bo bwe bagendanga okutabaala abalabe baabwe, yonna gy'oliba obatumye, bamala beegayirira nga bakoowoola eri ekibuga kye weerondera n'Ekiggwa kye nzimbidde erinnya lyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abantu bo bwe banaatabaalanga abalabe baabwe gy’onoobasindikanga ne basaba Mukama nga batunuulidde ekibuga kye weeroboza ne yeekaalu gye nzimbidde erinnya lyo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bo bwe banaatabaalanga abalabe baabwe, yonna gyonobanga obatumye ne basaba Mukama nga batunuulira ekibuga kye weeroboza ne Yeekaalu eno gye nzimbye okusinzizangamu erinnya lyo:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abantu bo bwe banaagendanga gy'onoobanga obatumye okulwanyisa abalabe baabwe, ne babaako kye bakusaba nga batunuulidde ekibuga kino kye weeroboza, era nga batunuulidde Essinzizo lino lye nkuzimbidde,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bo bwe banaatabaalanga abalabe baabwe mu kkubo lyonna ly'onoobatumanga ne basaba Mukama nga batunuulira ekibuga kye weeroboza n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo: