1 Kings 8:46 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bwe babanga basobezza gy'oli - anti tewali muntu atayonoona – n'obasunguwalira, n'obawaayo eri omulabe waabwe, abaabawamba ne babatwala mu busibe mu nsi ye ey'ewala oba okumpi,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bwe banaayonoonanga mu maaso go, kubanga tewali muntu atasobyanga, n’obasunguwalira n’obagabula eri omulabe, ne batwalibwa mu nsi eyeewala oba eyokumpi;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bo bwe banaakwonoonanga kubanga tewali muntu atayonoona, n'obasunguwalira n'obagabula eri abalabe baabwe, ne babatwala nga basibe mu nsi ey'abalabe oba wala oba kumpi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abantu bo bwe banaakolanga ebibi ne bakunyiiza, nga bwe watali atakola kibi, n'obasunguwalira era n'oleka abalabe baabwe okubawangula ne babatwala mu nsi eri okumpi oba ewala,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe banaakwonoonanga (kubanga tewali muntu atayonoonanga) n'obasunguwalira n'obagabula eri abalabe n'okutwala ne babatwala nga basibe mu nsi ey'abalabe oba wala oba kumpi;