1 Kings 8:47 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga bali eyo mu kifo gye basibiddwa, bamala beddamu muli mu mutima, ne beenenya ne bakuwanjagira eyo mu nsi gye baasibirwa nti: ‘Twayonoona, twasobya, twakola bubi,’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era bwe banaakyusanga emitima gyabwe nga bali mu nsi gye baabatwala ne babasibira eyo, ne beenenya era ne bakwegayiririra mu nsi y’abo abaabatwala nga boogera nti, ‘Twayonoona, twakola ebikyamu era ne tukola ekyejo;’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye bwe banajjukiriranga mu nsi gye baatwalibwa nga basibe ne bakyuka ne bakwegayirira mu nsi y'abo abaabatwala nga basibe nga boogera nti Twayonoona ne tukola eby'obubambaavu, twagira ekyejo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
naye bwe baneerowoozanga nga bali eyo mu nsi gye batwaliddwa nga basibe, ne beenenya, ne bakwegayirira nga bagamba nti: ‘Twayonoona, twawaba, era twakola ebitasaana,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye bwe banajjuukiriranga mu nsi gye baatwalibwa nga basibe ne bakyuka ne bakwegayiririra mu nsi y'abo abaabatwala nga basibe nga boogera nti Twayonoona ne tukola eby'obubambaavu, twagira ekyejo;