1 Kings 8:48 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bamala badda gy'oli n'omutima gwabwe gwonna n'omwoyo gwabwe gwonna, eyo mu nsi abalabe baabwe gye baabatwala mu busibe, bamala bakwegayirira, nga batunuulidde ensi gye wawa bajjajjaabwe, n'ekibuga kye walonda, n'Ekiggwa kye nzimbidde erinnya lyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bwe banaakukyukiranga n’omutima gwabwe gwonna n’emmeeme yaabwe yonna mu nsi ey’abalabe baabwe abaabawamba, ne bakusaba nga batunuulidde ensi gye wawa bajjajjaabwe, ekibuga kye weeroboza ne yeekaalu gye nzimbidde erinnya lyo;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe banaakomangawo gy'oli n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna mu nsi y'abalabe baabwe abaabatwala nga basibe, ne bakusaba nga batunuulira ensi yaabwe gye wawa bajjajjaabwe, ekibuga kye weeroboza ne Yeekaalu gye nzimbye okusinzizangamu erinnya lyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
bwe baneenenyezanga ddala mu mazima nga bali eyo mu nsi y'abalabe baabwe abaabatwala nga basibe, ne babaako kye bakusaba nga batunuulidde ensi yaabwe gye wawa bajjajjaabwe,’ era nga batunuulidde ekibuga kye weeroboza, era n'Essinzizo lino lye nkuzimbidde,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe banaakomangawo gy'oli n'omutima gwabwe gwonna n'emmeeme yaabwe yonna mu nsi y'abalabe baabwe abaabatwala nga basibe, ne bakusaba nga batunuulira ensi yaabwe gye wawa bajjajjaabwe, ekibuga kye weeroboza n'ennyumba gye nzimbidde erinnya lyo;