1 Kings 8:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye kabaka Solomoni n'ekibiina kyonna ekya Yisirayeli abaali bakuŋŋaanidde w'ali, baali naye mu maaso g'Essanduuku nga batambira endiga n'ente; tezaabalibwa kubanga zaayitirira obungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona n’Abaleevi ne babisitula, Kabaka Sulemaani n’abo abaali awamu naye, n’eggwanga lyonna erya Isirayiri eryali liri naye mu maaso g’essanduuko, ne bawaayo ebiweebwayo ebya ssaddaaka eby’endiga, n’ente, ebitaamanyibwa muwendo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Sulemaani n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri abaali bakuŋŋaanidde gy'ali baali wamu naye mu maaso g'essanduuko, nga bawaayo endiga n'ente ezitabalika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Solomooni n'Abayisirayeli bonna abaali bakuŋŋaanidde w'ali ne babeera mu maaso g'Essanduuko ey'Endagaano, ne batambira ente n'endiga nnyingi nnyo, ezitayinza kubalika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka Sulemaani n'ekibiina kyonna ekya Isiraeri abaali bakuŋŋaanidde gy'ali baali wamu naye mu maaso g'essanduuko, nga bawaayo endiga n'ente ezitabalika newakubadde okugattika olw'obungi.