1 Kings 8:50 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Osaasiranga abantu bo abaasobya gy'oli; osonyiwanga emisango gyabwe gye baakuzzaako, n'oleetera abaabatwala mu busibe okubakwatirwa ekisa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Osonyiwenga abantu bo abakusobezza, era obasonyiwenga ebibi byabwe byonna, era abo abaabawangula babakwatirwe ekisa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'osonyiwa abantu bo abakwonoonye okusobya kwabwe kwonna kwe bakusobya; n'obawa okusaasirwa mu maaso g'abo abaabatwala nga basibe, babakwatirwe ekisa:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'osonyiwa abantu bo abakoze ebibi ne bakunyiiza, n'obawa okusaasirwa abo abaabatwala nga basibe, babakwatirwe ekisa,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
osonyiwe abantu bo abakwonoonye n'okusobya kwabwe kwonna kwe bakusobya; obawe okusaasirwa mu maaso g'abo abaabatwala nga basibe, babasaasire: