1 Kings 8:51 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
anti bantu bo, busika bwo, abantu be waggya mu Misiri mu makkati g'akabiga akafukuta ekyuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga bantu bo era gwe mugabo gwo, be waggya mu Misiri, mu kyoto ekisaanuusa ekyuma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga be bantu bo era bwe busika bwo bwe waggya mu Misiri, mu kubonaabona kuli okungi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga be bantu bo, ababo ku bubwo, be waggya mu Misiri, mu kabiga k'omuliro, ak'ekyuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga be bantu bo era bwe busika bwo bwe waggya mu Misiri, wakati mu kikoomi eky'ekyuma;