1 Kings 8:53 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti ggwe wabalondoba mu mawanga gonna ag'ensi babe busika bwo, nga bwe wayogera, ayi Mukama Omuyinza, ng'oyita mu Musa omuweereza wo lwe waggya bajjajjaffe mu Misiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama Ayinzabyonna gwe walonda abantu bo mu mawanga gonna ag’omu nsi okuba ababo, nga bwe wayogerera mu muddu wo Musa, bwe waggya bajjajjaffe mu Misiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga wabaawula mu mawanga gonna ag'oku nsi okuba obusika bwo, nga bwe wayogerera mu muddu wo Musa, bwe waggya bajjajjaffe mu Misiri, ayi Mukama Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga wabaawula mu mawanga gonna ag'oku nsi, okuba ababo ku bubwo, nga bwe wagamba ng'oyita mu Musa omuweereza wo, bwe waggya bajjajjaffe mu Misiri, ayi Mukama, Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga wabaawula mu mawanga gonna ag'oku nsi okuba obusika bwo, nga bwe wayogera n'omukono gwa Musa omuddu wo, bwe waggya bajjajjaffe mu Misiri, ai Mukama Katonda.