1 Kings 8:54 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni bwe yamala okuweereza Omukama essaala eno n'okuwanjaga, n'asituka, n'ava mu maaso g'omwaliiro gw'Omukama we yali afukamidde ku maviivi gombi, ng'emikono agigololedde eri eggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Sulemaani bwe yamala okusaba n’okwegayiririra abantu eri Mukama, n’asituka okuva we yali afukamidde ng’emikono gye ajanjuluza eri eggulu, mu maaso g’ekyoto kya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sulemaani bwe yamala okusaba Mukama ebyo byonna n'okumwegayirira, n'asituka okuva mu maaso g'ekyoto kya Mukama, we yali afukamidde, ng'ayanjuluza engalo ze eri eggulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Solomooni bwe yamala okusaba Mukama ebyo byonna n'okumwegayirira, n'asituka mu maaso ga alutaari ya Mukama, we yali afukamidde ng'agolodde emikono gye eri eggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka Sulemaani bwe yamala okusaba ebyo byonna n'okwegayirira eri Mukama, n'agolokoka n'ava mu maaso g'ekyoto kya Mukama n'ava ku maviivi ge ge yali afukamiddeko, ng'ayanjuluzizza engalo ze eri eggulu.