1 Kings 8:58 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emitima gyaffe agiwunzikire gy'ali, tutambulirenga mu makubo ge gonna, tukwatenga ebiragiro bye, amateeka ge n'ennamula ye yonna, bye yalagira bajjajjaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akyuse emitima gyaffe tudde gyali, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okukwatanga ebiragiro bye, n’amateeka ge, n’ebigambo bye n’emisango gye bye yawa bajjajjaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
alyoke akyuse emitima gyaffe agize gy'ali tutambulirenga mu makubo ge gonna tukwatenga ebiragiro bye n'amateeka ge n'emisango gye bye yalagira bajjajjaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akyuse emitima gyaffe agizze gy'ali, tulyoke tumunywererengako bulijjo era tukuumenga amateeka ge n'ebiragiro bye ne by'akuutira, bye yawa bajjajjaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
alyoke akyuse emitima gyaffe gy'ali okutambuliranga mu makubo ge gonna n'okukwatanga ebiragiro bye n'amateeka ge n'emisango gye bye yalagira bajjajjaffe.