1 Kings 8:59 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'ebigambo byange bino, bye mpanjagidde mu maaso g'Omukama, bibeerenga kumpi n'awali Omukama Katonda waffe ekiro n'emisana, akolenga ku nsonga z'omuweereza we ne ku nsonga z'abantu be Yisirayeli mu byetaago byabwe ebya buli kanaku,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ebigambo byange bino bye nsabye mu maaso ga Mukama, bibeerenga kumpi ne Mukama Katonda waffe emisana n’ekiro, alyoke awanirire ensonga y’abantu be Isirayiri, ng’ebyetaago ebya buli lunaku,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ebigambo byange bino bye nneegayiridde mu maaso ga Mukama bibeerenga kumpi Mukama Katonda waffe emisana n'ekiro, akwatirwenga abantu be Abaisiraeri n'omuweereza we kabaka waabwe, ekisa, mu byetaago byabwe buli lunaku,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebigambo byange bino bye njogedde nga neegayirira mu maaso ga Mukama, Mukama Katonda waffe abijjukirenga emisana n'ekiro, akwatirwenga abantu be Abayisirayeli n'omuweereza we kabaka waabwe, ekisa, mu byetaago byabwe buli lunaku,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebigambo byange bino bye nneegayiridde mu maaso ga Mukama bibeerenga kumpi Mukama Katonda waffe emisana n'ekiro, awoze ensonga y'omuddu we n'ensonga y'abantu be Isiraeri, nga buli lunaku bwe lunaayagalanga: