1 Kings 8:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakabona ne bayingiza Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama mu kifo kyayo mu Kisenge eky'Omunda eky'omu Kiggwa, Awatukuvu Ennyo, ne bagissa wansi w'ebiwaawaatiro bya bakerubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bakabona ne bayingiza essanduuko ey’endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, mu kisenge eky’omunda, mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, wansi w’ebiwaawaatiro bya bakerubi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bakabona ne bayingiza essanduuko ey'endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, ekifo ekitukuvu ennyo, wansi w'ebiwaawaatiro bya bakerubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bakabona ne baleeta mu Ssinzizo, Essanduuko ya Mukama ey'Endagaano, ne bagiteeka mu kifo kyayo munda mu Ssinzizo, mu Kifo Ekitukuvu Ennyo, wansi w'ebiwaawaatiro bya bakerubi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bakabona ne bayingiza essanduuko ey'endagaano ya Mukama mu kifo kyayo, awayimibwa mu nnyumba okwogera, mu kifo ekitukuvu ennyo, wansi w'ebiwawaatiro bya bakerubi.