1 Kings 8:62 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo kabaka wamu ne Yisirayeli yenna ne baweereza ebitambiro mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kabaka ne Isirayiri yonna ne bawaayo ssaddaaka mu maaso ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka Sulemaani n'Abaisiraeri bonna abali naye, ne bawaayo ssaddaaka eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka Solomooni wamu n'Abayisirayeli bonna abaali naye, ne bawaayo ebitambiro eri Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka ne Isiraeri yenna wamu naye ne bawaayo ssaddaaka mu maaso ga Mukama.