1 Kings 8:63 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni yaweereza ebitambiro eby'okussa ekimu bye yatambirira Omukama: ente emitwalo ebiri mu enkumi bbiri, n'endiga n'embuzi kasiriivu kamu mu emitwalo ebiri. Kabaka n'Abayisirayeli bonna ne batukuza Ekiggwa ky'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sulemaani yawaayo ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe eri Mukama, era bino bye yawaayo: ente emitwalo ebiri, n’endiga n’embuzi emitwalo kkumi n’ebiri. Bwe batyo Kabaka n’Abayisirayiri bonna ne bawonga yeekaalu ya Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sulemaani n'awaayo ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe; ente emitwalo ebiri mu enkumi bbiri (22,000), n'endiga emitwalo kkumi n'ebiri (120,000). Kabaka n'Abaisiraeri bonna bwe batyo bwe bawonga Yeekaalu ya Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Solomooni n'awaayo ente emitwalo ebiri mu enkumi bbiri, n'endiga emitwalo kkumi n'ebiri, okuba ekitambiro eky'ebiweebwayo olw'okutabagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sulemaani n'awaayo okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe gye yawaayo eri Mukama ente obukumi bubiri mu enkumi bbiri n'endiga kasiriivu mu obukumi bubiri. Bwe batyo kabaka n'abaana ba Isiraeri bonna ne bawonga ennyumba ya Mukama.