1 Kings 8:65 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo, Solomoni n'amala ennaku musanvu ng'akuza embaga enkulu mu maaso ga Katonda waffe, nga ne Yisirayeli yenna ali naye, ekibiina ekinene ennyo, omwali abaava ku Lebo-Kamati okutuuka ku Kiwonvu Misiri; baayongeramu n'endala musanvu, zonna awamu ze nnaku kkumi na nnya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sulemaani ne Isirayiri yonna wamu naye, ne batuukiriza embaga eyo mu biro ebyo, ekibiina ekinene ddala mu maaso ga Mukama Katonda waffe, nga beegatiddwako abantu abaava ku mulyango gwa Kamasi n’abaava ku mukutu gw’e Misiri, okumala ennaku kkumi na nnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kiseera ekyo, Sulemaani ng'ali wamu n'Abaisiraeri bonna, n'akola embaga mu maaso ga Mukama, Katonda waffe, gye baamalako ennaku musanvu, n'ennaku endala musanvu, ze nnaku kkumi na nnya (14). Embaga eyo yaliko abantu bangi nnyo, abaava n'ewala ennyo, ng'eri awayingirirwa e Kamasi mu bukiikakkono, ne ku kagga ak'e nsalo ne Misiri, mu bukiikaddyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo, Solomooni ng'ali wamu n'Abayisirayeli bonna, n'akola embaga mu maaso ga Mukama, Katonda waffe, gye baamalako ennaku musanvu, n'ennaku endala musanvu, ze nnaku kkumi na nnya. Embaga eyo yaliko abantu bangi nnyo, abaava n'ewala ennyo, ng'eri awayingirirwa e Hamati mu bukiikakkono, ne ku Kagga ak'ensalo ne Misiri, mu bukiikaddyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sulemaani n'afumba embaga eyo mu biro ebyo ne Isiraeri yenna wamu naye, ekibiina ekinene, okuva awayingirirwa e Kamasi okutuuka ku kagga ak'e Misiri, mu maaso ga Mukama Katonda waffe, ennaku omusanvu n'ennaku omusanvu, ze nnaku ekkumi n'ennya.