1 Kings 8:66 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enkeera n'asiibula abantu; abantu baasabira kabaka omukisa, ne bagenda buli omu mu weema ye, nga basanyufu, omutima nga gujaguza, olw'ebirungi byonna Omukama bye yali akoledde Dawudi omuweereza we ne Yisirayeli abantu be.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku olwaddirira abantu ne basabira Kabaka omukisa, n’abasiibula ne baddayo ewaabwe nga basanyuka era nga bajaguza mu mutima olw’ebirungi byonna Mukama bye yali akoledde Dawudi omuddu we n’abantu be Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olw'omunaana olwaddirira ennaku omusanvu ez'omulundi ogwokubiri, kabaka n'asiibula abantu okuddayo ewaabwe. Abantu ne bamusabira omukisa, ne baddayo ewaabwe nga basanyufu, era nga bajaganya mu mitima gyabwe olw'obulungi Mukama bye yali alaze Dawudi omuddu we, n'abantu be Abaisiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'omunaana, kabaka n'asiibula abantu okuddayo ewaabwe. Abantu ne bamusabira omukisa, ne baddayo ewaabwe nga basanyufu, era nga bajaganya mu mitima gyabwe olw'ebirungi Mukama bye yali awadde Dawudi omuweereza we, n'abantu be Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku olw'omunaana n'asindika abantu, ne basabira kabaka omukisa, ne bagenda mu weema zaabwe nga basanyuka era nga bajaguza mu mitima gyabwe olw'obulungi bwonna Mukama bwe yali alaze Dawudi omuddu we ne Isiraeri abantu be.