1 Kings 8:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Ssanduuku temwalimu kirala wabula ebipande ebibiri eby'amayinja Musa bye yateeramu ku Korebu, Omukama gye yakolera endagaano n'Abayisirayeli bwe baali baakava mu nsi y'e Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temwali kintu mu ssanduuko okuggyako ebipande ebibiri eby’amayinja Musa bye yateekamu e Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano n’abaana ba Isirayiri, nga bavudde mu nsi y’e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temwali kintu kirala mu ssanduuko wabula ebipande byombi eby'amayinja Musa bye yateekamu ku Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano n'abaana ba Isiraeri, bwe baava mu nsi y'e Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu Ssanduuko ey'Endagaano temwalimu kintu kirala, wabula ebipande by'amayinja ebibiri, Musa bye yateekeramu ku Lusozi Horebu, Mukama bwe yakola endagaano n'Abayisirayeli, nga bavudde mu nsi y'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewaali kintu mu ssanduuko wabula ebipande byombi eby'amayinja Musa bye yateekamu ku Kolebu, Mukama bwe yalagaana endagaano n'abaana ba Isiraeri, bwe baava mu nsi y'e Misiri.