1 Kings 9:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Solomoni yawa Kiramu kabaka w'e Tiiro ebibuga amakumi abiri mu kitundu ky'e Galilaaya kubanga Kiramu yali awadde Solomoni emiti gy'entolookyo n'egya sipulaasi ne zaabu nga bwe yayagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Sulemaani yagabira Kiramu kabaka w’e Ttuulo ebibuga amakumi abiri, olw’emivule, n’emiberosi ne zaabu bye yaweereza Sulemaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Sulemaani n'awa Kabaka Kiramu ebibuga abiri (20), mu kitundu ky'e Ggaliraaya. Kiramu oyo kabaka w'e Ttuulo ye yayamba Sulemaani okufuna byonna bye yayagala okuzimbisa: emivule, n'emiberosi, ne zaabu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Solomooni n'awa Kabaka Hiraamu ebibuga amakumi abiri, mu kitundu ky'e Galilaaya. Hiraamu oyo kabaka w'e Tiiro ye yayamba Solomooni okufuna byonna bye yayagala okuzimbisa: emivule, n'emiberosi, ne zaabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(era Kiramu kabaka w'e Ttuulo yali amulabidde Sulemaani emivule n'emiberosi n'ezaabu nga byonna bwe byali bye yayagala,) awo kabaka Sulemaani n'awa Kiramu ebibuga amakumi abiri mu nsi y'e Ggaliraaya.