1 Kings 9:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eno ye mbalirira y'akasanvu Solomoni ke yassaawo okuzimba Ekiggwa ky'Omukama, olubiri lwe, ne Millo, ne bbugwe wa Yeruzaalemu, ne Kazori, Megiddo ne Gezeri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka Sulemaani mu buyinza bwe n’amaanyi ge, yakuŋŋaanya abasajja ab’amaanyi bangi okuzimba yeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwe, n’obusenge obuwagika bbugwe wa Yerusaalemi, n’ebibuga ebya Kazoli, ne Megiddo ne Gezeri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gino gy'emirimu egy'obuwaze kabaka Sulemaani gye yakozesa abantu: okuzimba Yeekaalu n'ennyumba ye ne Miiro n'okuzimba ekigo kya Yerusaalemi, n'okuzimba ebibuga Kazoli ne Megiddo ne Gezeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gino gye mirimu egy'obuwaze Kabaka Solomooni gye yakozesa abantu: okuzimba Essinzizo n'olubiri lwe, n'ekifo ekyajjuzibwamu ettaka olw'okwerinda ekiyitibwa Millo, n'okuzimba ekigo kya Yerusaalemu, n'okuzimba ebibuga Hazori ne Megiddo ne Gezeri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era eno ye nsonga y'okusolooza kabaka Sulemaani kwe yasolooza; okuzimba ennyumba ya Mukama n'ennyumba ye ne Miiro ne bbugwe wa Yerusaalemi ne Kazoli ne Megiddo ne Gezeri.